Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Katonda, ggwe onnyamba, bwe nkukoowoola onziramu. Kati nkwatirwa ekisa, owulire kye nsaba. |
| 2 |
| Mmwe abantu mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okukolera ku by'obulimba? |
| 3 |
| Mumanye nti Mukama abamwagala abalonze okuba ababe. Mukama bwe mmukoowoola, ampulira. |
| 4 |
| Mmwe mutye, mulekere awo okwonoona. Musiriikirire mulowooze nga mwebase mu bitanda byammwe. |
| 5 |
| Muweeyo ebitambiro ebisaanira, era mwesige Mukama. |
| 6 |
| Bangi abagamba nti: “Ani alitulaga ebirungi? Tutunuulize ekisa, ayi Mukama.” |
| 7 |
| Ompadde essanyu eritafunibwa balala mu kyengera ky'emmere n'omwenge. |
| 8 |
| Ngalamira ne neebaka mirembe, kubanga, ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/004.mp3
150
4