×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 4

1
Onziremu, Ayi Katonda bwe nkukoowoola. ow'obutukirivu bwange, Wansumulula bwe nnali mu nnaku, Onsaasire, owulire okusaba kwange.
2
Mmwe abantu, mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba?
3
Naye mutegeere nga Mukama yeeyawuliddeko abamutya okuba ababe. Mukama ampulira bwe mukoowoola.
4
Bwe munyiiga, temwonoona. Musiriikirire, mufumiitirize mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe.
5
Muweeyo ssaddaaka ezisaanira, Era mwesige Mukama.
6
Waliwo bangi abagamba nti, “Ani alitulaga ebirungi? Ayi Mukama, tutunuulire n'ekisa.”
7
Otadde essanyu mu mutima gwange, Okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8
Ngalamira ne nneebaka mu mirembe, Kubanga, Ayi Mukama, ggwe onkuuma ne sitya.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes