|
| 1 |
|
| Nagumiikiriza ne nninda Mukama okunnyamba, yategereza n'awulira bwe nkaaba. |
|
| 2 |
|
| Yanzigya mu bunnya obuntiisa, ne mu bitosi mwe ntubira, n'anteeka ku lwazi kwe mponera, n'annyweza ebigere we nninnye. |
|
| 3 |
|
| Yanjigiriza oluyimba oluggya, olutendereza Katonda waffe. Bangi baliraba kino ne batya, baliyiga ne beesiga Mukama. |
|
| 4 |
|
| Wa mukisa eyeesiga Mukama, era ateesigula bakola bya malala, wadde abasinza ebitajja nsa. |
|
| 5 |
|
| Ayi Mukama, Katonda wange, ebyewuunyisa by'otukolera bingi, tewali alikwenkana. Ne by'otutegekera bingi. Bwe ngezaako okubimenya wadde okubyogerako, tebibalika obungi! |
|
| 6 |
|
| Ebitambiro n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire. |
|
| 7 |
|
| Kyennava ŋŋamba nti: “Nzuuno, nzize. Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo. |
|
| 8 |
|
| Ayi Katonda wange, nsanyuka okukola by'oyagala, era nkuuma amateeka go mu mutima gwange.” |
|
| 9 |
|
| Ng'abantu bo bakuŋŋaanye nayatula nga bw'otulokodde. Ayi Mukama, omanyi nga siirekengayo kukyogera ekyo. |
|
| 10 |
|
| Kye namanya nti otulokodde nakyogera, saasirika abantu bo we bakuŋŋaanidde. Obwesigwa bwo n'obuyambi bwo, ekisa kyo n'amazima go, ssaabikisa. |
|
| 11 |
|
| Tolekaayo kunsaasira, ayi Mukama. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga bulijjo, |
|
| 12 |
|
| kubanga neetooloddwa ebizibu nkumu ebitabalika. Mbikkiddwa ebibi byange, tebikyaŋŋanya kulaba. Okubibala obungi, bikira enviiri ez'oku mutwe gwange. Era mpweddemu amaanyi. |
|
| 13 |
|
| Ayi Mukama, kkiriza okumponya. Ayi Mukama, yanguwa okunnyamba. |
|
| 14 |
|
| Bonna abaagala okunzita, bakwatibwe ensonyi baswale. Abasanyukira ennaku yange, bazzibwe emabega nga baswadde. |
|
| 15 |
|
| Abansekerera, batye era baswale. |
|
| 16 |
|
| Bonna abeeyuna gy'oli basanyuke bajaguze. Abakwebaza olw'okubalokola, bagambenga bulijjo nti: “Mukama agulumizibwe.” |
|
| 17 |
|
| Nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, naye Mukama andowoozaako. Ggwe onnyamba era ggwe omponya. Ayi Katonda wange, tolwa! |
|
|
|
|