×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 40

1
Mu bugumikiriza nnalindirira Mukama, Nnantegera okutu, n'awulira okukaaba kwange.
2
Yanzigya mu bunnya obw'okuzikirira, ne mu bitositosi, N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'annyweza nga ntambula.
3
Yanjigiriza oluyimba oluggya, olutendereza Katonda waffe. Bangi abaliraba kino ne batya, Ne beesiga Mukama.
4
Wa mukisa omuntu eyeesiga Mukama, Atassamu ba malala kitiibwa wadde abo abasinza ebitali Katonda.
5
Ayi Mukama, Katonda wange, eby'ekitalo by'otukolera bingi, tewali akwenkana. By'otuteekerateekera bingi, Sisobola kubimenya kinnakimu, Wadde okubyogerako, Tebibalika obungi.
6
Ssaddaaka n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire.
7
Ne ndyoka njogera nti, “Nzuuno, nzize.” Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo.
8
Nsanyuka okukola by'oyagala, Ayi Katonda wange, Era nkuuma amateeka go, mu mutima gwange munda.
9
Mbuulidde obulokozi bwo mu kibiina ekinene. Ayi Mukama, ggwe omanyi, Siirekangayo kukyogerako ekyo.
10
Sikwekanga bulokozi bwo ne siibwogerako. Mbuulidde obwesige bwo n'amazima go. Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
11
Naawe, Ayi Mukama, tolekaayo kunsaasira. Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
12
Kubanga nneetooloddwa ebizibu bingi ebitabalika. Mbikkiddwa ebibi byange, ssiyinza kulaba. Bisinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era mpweddemu amaanyi.
13
Kkiriza, Ayi Mukama, okumponya. Yanguwa okunnyamba, Ayi Mukama.
14
Bonna bakwatibwe ensonyi baswale, Abaagala okunzita, Abasanyukira obuyinike bwange. Bazzibwe emabega nga baswadde.
15
Abansekerera baswale.
16
Bonna abakunoonya basanyuke, bajaguze. Abo abakwebaza olw'okubalokola, boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwe.”
17
Naye nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu, Naye Mukama andowoozaako. Ggwe mubeezi wange era omulokozi wange. Tolwawo, Ayi Katonda wange.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes