Luganda Bible
|
| 1 |
| Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi. |
| 2 |
| Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi; So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala. |
| 3 |
| Mukama anaamujjanjabanga ng'ayongobera ku kitanda: Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw'alwala. |
| 4 |
| Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe. |
| 5 |
| Abalabe bange banjogerako obubi nti Alifa ddi, erinnya lye ne libula? |
| 6 |
| Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu; Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu: Bw'ava mu nnyumba, abubuulira. |
| 7 |
| Bonna abankyawa bangeyera wamu: Bateesa ebigambo okunkola akabi. |
| 8 |
| Boogera nti Endwadde embi emukutte: Kaakano bw'agalamidde, tagenda kugolokoka nate. |
| 9 |
| Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Ansitulidde ekisinziiro kye. |
| 10 |
| Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose, Ndyoke mbawalanire eggwanga. |
| 11 |
| Kyenvudde mmanya ng'onsanyukira, Kubanga omulabe wange tampangula. |
| 12 |
| Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange, Era onteeka mu maaso go ennaku zonna. |
| 13 |
| Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/041.mp3
150
41