×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 41

1
Wa mukisa alumirwa abaavu; olutuukibwako ebizibu, Mukama amuyamba.
2
Mukama amukuuma n'amuwa obulamu, amuwa omukisa mu nsi, tamuwaayo kufugibwa balabe be.
3
Ng'ali ku ndiri alwadde, Mukama amuyamba, n'amuwonya obulumi bwe bwonna.
4
Nze nagamba nti: “Ayi Mukama, nnyonoonye, nkunyiizizza, mponya lwa kisa.”
5
Abalabe bange basaakiriza nti: “Alifa ddi ne yeerabirwa?”
6
Abajja okundaba boogera bitajja nsa. Banoonya bya ŋŋambo. Bwe bagenda, ze balaalaasa.
7
Bonna abankyawa banjogerako obwama. Ebisinga obubi bye bandowoozaako.
8
Bagamba nti: “Obulwadde bw'alwadde, si bwa kuwona, taliyimuka wansi.”
9
Ne mukwano gwange, oyo gwe neesiganga ennyo, bwe tulya ku lujjuliro, afuuse mulabe ampaayo.
10
Ayi Mukama, ba wa kisa, nnyimusa, ndyoke mbawoolere eggwanga.
11
Omulabe wange tampangudde. Kino kindaze nti onjagala.
12
Ompaniridde kubanga nkola ekituufu. Ontadde mu maaso go ennaku zonna.
13
Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, otenderezebwe emirembe n'emirembe. Amiina era amiina.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes