Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi. |
| 2 |
| Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be. |
| 3 |
| Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi. |
| 4 |
| Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.” |
| 5 |
| Abalabe bange boogeza obukyayi nti, “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?” |
| 6 |
| Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula. |
| 7 |
| Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama; nga banjogerako ebitali birungi. |
| 8 |
| Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo, emukubye wansi tayinza kuwona.” |
| 9 |
| Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde. |
| 10 |
| Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze. |
| 11 |
| Mmanyi ng’onsanyukira, kubanga omulabe wange tampangudde. |
| 12 |
| Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna. |
| 13 |
| Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna. Amiina era Amiina. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/041.mp3
150
41