EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Wa mukisa oyo alumirwa abaavu; Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi. |
| 2 |
| Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi. Taweebwengayo eri abalabe be okumukola bye baagala. |
| 3 |
| Mukama anaamujjanjabanga ng'ali ku kitanda alwadde. Anaawonyezebwanga obulumi bwe bwonna. |
| 4 |
| N'agamba nti, “Ayi Mukama, onsaasire, Omponye, kubanga nnyonoonye ggwe. |
| 5 |
| Abalabe bange banjogerako obubi nti, ‘Alifa ddi, erinnya lye ne libula?’ |
| 6 |
| Abajja okundaba, boogera ebitaliimu. Banoonya ebibi eby'okunjogerako, Bwe bava wendi, nebabyogera buli wantu. |
| 7 |
| Bonna abankyawa bangeyera wamu: Ebisinga obubi bye bandowoozaako. |
| 8 |
| Boogera nti, ‘Endwadde embi emukutte, Kaakano nga bw'agalamidde, tagenda kuwona.’ |
| 9 |
| Era ne munnange, mukwano gwange, nze gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Anefuulidde. |
| 10 |
| Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, omponye, Ndyoke mbawoolere eggwanga. |
| 11 |
| Ntegedde nga onjagala, Kubanga omulabe wange tampangudde. |
| 12 |
| Onywezeza olw'obutuukirivu bwange, Ontadde mu maaso go ennaku zonna. |
| 13 |
| Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/041.mp3
150
41