Luganda Bible
|
| 1 |
| Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda. |
| 2 |
| Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? |
| 3 |
| Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa? |
| 4 |
| Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange, Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku. |
| 5 |
| Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge. |
| 6 |
| Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali, |
| 7 |
| Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira: Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko. |
| 8 |
| Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange. Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange. |
| 9 |
| Ndigamba Katonda olwazi lwange nti Kiki ekikunneerabizza? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe? |
| 10 |
| Ng'ekitala mu magumba gange, abalabe bange banvuma; Nga baŋŋamba obutayosa nti Katonda wo ali ludda wa? |
| 11 |
| Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/042.mp3
150
42