Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, nange bwe nkwettanira, ayi Katonda. |
| 2 |
| Omwoyo gunnumira Katonda Nnannyinibulamu: ndijja ddi ne ndabika mu maaso ge? |
| 3 |
| Emisana n'ekiro amaziga ye mmere yange. Buli budde nga bwe baŋŋamba nti: “Katonda wo ali ludda wa?” |
| 4 |
| Bwe njijukira eby'edda, nennyamira! Nagendanga n'ekibiina ky'abantu, ne nkulemberamu nga tutambula okulaga mu nnyumba ya Katonda ng'essanyu litujjudde, tuyimba tusaakaanya ennyimba ezimutendereza. |
| 5 |
| Kale kaakano, lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange. |
| 6 |
| Ayi Katonda wange, ennaku ennuma omwoyo! Kyenva nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yorudaani ne ku nsozi z'e Herumooni ne ku kasozi Mizari. |
| 7 |
| Ebiyiriro by'amazzi biyita binnaabyo, amazzi go ageefuukuula bwe gayira. Engezi yo yonna n'amayengo biyise ku nze! |
| 8 |
| Mukama alaga ekisa kye emisana, ekiro ndyoke mbe n'oluyimba lwe nnyimba, nga nsaba Katonda akuuma obulamu bwange. |
| 9 |
| Ŋŋamba Katonda antaasa nti: “Lwaki ggwe onneerabidde? Lwaki mbonyaabonyezebwa abalabe bange?” |
| 10 |
| Njigganyizibwa ebivumo byabwe, nga bambuuza obutayosa nti: “Katonda wo ali ludda wa?” |
| 11 |
| Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka neesige Katonda, kubanga ndiddamu okumutendereza, Katonda Omulokozi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/042.mp3
150
42