EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. |
| 2 |
| Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, omulamu. Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? |
| 3 |
| Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?” |
| 4 |
| Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange, Engeri gye nnagenda n'ekibiina ky'abantu, ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo. |
| 5 |
| Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange, |
| 6 |
| era Katonda wange. Ayi Katonda wange, emmeeme yange yeenyika munda mu nze, Bw'entyo nkulowoozaako nga ndi mu nsi ya Yoludaani, Era ne ku nsozi za Kerumooni, ne ku kasozi Mizali, |
| 7 |
| Obuziba bukoowoola obuziba, olw'okubwatuuka kw'ebiyiriro byo; Amayengo go gonna n'amasingiisira go bimpiseeko. |
| 8 |
| Naye Mukama anaalaganga ekisa kye emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange, essaala eri Katonda ow'obulamu bwange. |
| 9 |
| Ne ŋŋamba Katonda olwazi lwange nti, “Kiki ekikunneerabizza?” Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okuyiganyizibwa abalabe bange? |
| 10 |
| Ng'ekitala mu magumba gange, njigganyizibwa ebivumo byabwe; Nga bambuuza obutayosa nti, “Katonda wo ali ludda wa?” |
| 11 |
| Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/042.mp3
150
42