Luganda Bible
|
| 1 |
| Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda: Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu. |
| 2 |
| Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe? |
| 3 |
| Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye: Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo. |
| 4 |
| Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange. |
| 5 |
| Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/043.mp3
150
43