Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Katonda, sala omusango nsinge abalabe bange aboonoonyi. Mponya abalimba era ababi. |
| 2 |
| Ggwe onkuuma. Lwaki onjabulidde? Lwaki abalabe bange bambonyaabonya? |
| 3 |
| Mpa ekitangaala kyo n'amazima go binkulembere, bintuuse ku lusozi lwo olutukuvu, ne ku weema yo entukuvu, |
| 4 |
| olwo ndyoke ntuuke ku alutaari yo, ggwe Katonda wange ansanyusa ennyo, nnyimbire ku nnanga nkutende ggwe ayi Katonda wange. |
| 5 |
| Kale lwaki ennaku ennuma omwoyo, era lwaki neeraliikirira? Ka nneesige Katonda kubanga ndiddamu ne mmutendereza, Katonda Omulokozi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/043.mp3
150
43