Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda, onnejjeereze omponye eggwanga eritatya Katonda ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi. |
| 2 |
| Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi. Lwaki ondese? Lwaki ŋŋenda nkaaba nga nnyigirizibwa omulabe? |
| 3 |
| Kale tuma omusana gwo n’amazima binnuŋŋamye; bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mw’obeera. |
| 4 |
| Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga, Ayi Katonda, Katonda wange. |
| 5 |
| Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/043.mp3
150
43