×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 43

1
Onsalire omusango, Ayi Katonda, era ompolereze eri abantu abatatya Katonda; Ondokole eri omuntu omulimba atali mutuukirivu!
2
Kubanga ggwe oli Katonda mwe nneekweka; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okunyigirizibwa kw'abalabe bange?
3
Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye, Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4
Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, Ayi Katonda, Katonda wange.
5
Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes