|
| 1 |
|
| Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda. |
|
| 2 |
|
| Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala. |
|
| 3 |
|
| Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe. |
|
| 4 |
|
| Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo. |
|
| 5 |
|
| Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe. |
|
| 6 |
|
| Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola. |
|
| 7 |
|
| Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa. |
|
| 8 |
|
| Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera) |
|
| 9 |
|
| Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe. |
|
| 10 |
|
| Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira. |
|
| 11 |
|
| Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga. |
|
| 12 |
|
| Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo. |
|
| 13 |
|
| Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde. |
|
| 14 |
|
| Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu. |
|
| 15 |
|
| Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde, |
|
| 16 |
|
| Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga. |
|
| 17 |
|
| Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo. |
|
| 18 |
|
| Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo; |
|
| 19 |
|
| Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa. |
|
| 20 |
|
| Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya, |
|
| 21 |
|
| Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi. |
|
| 22 |
|
| Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa. |
|
| 23 |
|
| Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna. |
|
| 24 |
|
| Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira? |
|
| 25 |
|
| Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka. |
|
| 26 |
|
| Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo. |
|
|
|
|