1
Ayi Mukama, bajjajjaffe baatunyumiza ne twewulirira n'agaffe ebyewuunyo bye wakola edda mu biro byabwe.
2
Wagoba mu nsi ab'amawanga amalala, owe bano we banaabeeranga. Wabonyaabonya abantu bali, bano n'obawa nnyo eddembe.
3
Bajjajjaffe baawangula ensi eyo nga tebalwanyisa bitala. Baawangula olutalo newaakubadde nga tebaali ba maanyi. Gaali maanyi go na buyinza bwo n'okukakasa nti oli nabo, ebyabalaga okwagala kwo.
4
Ggwe Kabaka wange era Katonda wange, ayamba abantu ba Yakobo ne bawangula.
5
Olw'obuyinza bwo tuwangula abalabe baffe, ne tulinnyirira abatulumbagana.
6
Seesiga mutego gwa kasaale kange, wadde ekitala kyange okumponya.
7
Naye ggwe watuwonya abalabe baffe, n'owangula abatukyawa.
8
Tuneenyumiririzanga mu ggwe Katonda, era tunaakwebazanga bulijjo.
9
Naye kaakano otusudde muguluka, otulese ne tuwangulwa. Tokyatabaalira wamu na ggye lyaffe.
10
Watuleka tudduke abalabe baffe, ne banyaga n'ebyaffe.
11
Watuwaayo tuttibwe ng'endiga, n'otusaasaanya mu mawanga.
12
Watunda abantu bo omuwendo omutono ogutaleese na magoba.
13
Okkirizza baliraanwa baffe batuvume, abatwetoolodde batunyoome baseke.
14
Otulese okugayibwa ab'amawanga amalala; batunyeenyeza emitwe mu bunyoomi.
15
Obudde buziba nga nnyoomebwa, nzenna nzijudde kuswala
16
nga mpulira ababoggola era abavuma, n'abalabe abawoolera eggwanga.
17
Ebyo byonna bitutuuseeko newaakubadde tetukwerabidde, wadde okumenya endagaano gye wakola naffe.
18
Tetukuvangako ffe, tetujeemeranga biragiro byo.
19
Naye ggwe watusuula awali emisege, n'otuleka mu kizikiza ekizibu.
20
Singa twerabidde Katonda waffe, ne tugezaako okusinza omulala,
21
tewandikirabye ekyo Katonda amanya ebikisiddwa mu mutima?
22
Olunaku lwonna tuli mu kabi ka kuttibwa ku lulwo. Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa.
23
Zuukuka, lwaki weebaka, ayi Mukama? Golokoka, totusuula nnaku zonna!
24
Lwaki otwekweka n'otolabika? Lwaki ffe abalumwa era ababonaabona otwerabira?
25
Twekubye mu nfuufu, tugudde ku ttaka wansi.
26
Jjangu otuyambe. Otuwonye olw'ekisa kyo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.