|
| 1 |
|
| Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira, ebyo bye wakola mu biro byabwe, mu nnaku ez’edda ezaayita. |
|
| 2 |
|
| Nga bwe wagoba amawanga mu nsi n’ogiwa bajjajjaffe, wasaanyaawo amawanga n’okulaakulanya bajjajjaffe. |
|
| 3 |
|
| Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola; wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala. |
|
| 4 |
|
| Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange; awa Yakobo obuwanguzi. |
|
| 5 |
|
| Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe; ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe. |
|
| 6 |
|
| Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga, n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi. |
|
| 7 |
|
| Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe, n’oswaza abo abatuyigganya. |
|
| 8 |
|
| Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna. Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna. |
|
| 9 |
|
| Naye kaakano otusudde ne tuswala; era tokyatabaala na magye gaffe. |
|
| 10 |
|
| Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba, abatuyigganya ne batunyaga. |
|
| 11 |
|
| Watuwaayo okuliibwa ng’endiga; n’otusaasaanya mu mawanga. |
|
| 12 |
|
| Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo, n’otobaako ky’oganyulwa. |
|
| 13 |
|
| Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe, ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde. |
|
| 14 |
|
| Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna; era abantu banyeenya emitwe gyabwe. |
|
| 15 |
|
| Nswazibwa obudde okuziba, amaaso gange ne gajjula ensonyi, |
|
| 16 |
|
| olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu, olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga. |
|
| 17 |
|
| Ebyo byonna bitutuseeko, newaakubadde nga tetukwerabidde, wadde obutagondera ndagaano yo. |
|
| 18 |
|
| Omutima gwaffe tegukuvuddeeko, so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo. |
|
| 19 |
|
| Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege, n’otuleka mu kizikiza ekikutte. |
|
| 20 |
|
| Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe, ne tusinza katonda omulala, |
|
| 21 |
|
| ekyo Katonda waffe teyandikizudde? Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima. |
|
| 22 |
|
| Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba, era tuli ng’endiga ez’okusalibwa. |
|
| 23 |
|
| Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase? Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama! |
|
| 24 |
|
| Lwaki otwekwese? Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa? |
|
| 25 |
|
| Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu; tuli ku ttaka. |
|
| 26 |
|
| Golokoka otuyambe; tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo. |
|
|
|
|