×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 44

1
Twawuliranga n'amatu gaffe, Ayi Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Eby'amagero bye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2
N'omukono gwo wagobamu amawanga, n'oteekamu bajjajjaffe; Wabonyaabonya amawanga, naye ababo n'obawa eddembe ddala.
3
Kubanga abantu bo tebaawangula nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde amaanyi gaabwe si ge gabalokola; Wabula omukono gwo ogwa ddyo, n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, kubanga wabasanyukira.
4
Ggwe oli kabaka wange, era Katonda wange: Owa obulokozi eri Yakobo abantu bo.
5
Olw'obuyinza bwo tuwangula abalabe baffe; Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo bonna abatugolokokerako.
6
Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola.
7
Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa.
8
Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna.
9
Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So tokyatabaala n'eggye lyaffe.
10
Watuleka ne tudduka abalabe baffe; N'abo abatukyawa ne banyaga n'ebyaffe.
11
Watuwaayo ng'endiga ez'okuttibwa; Watusaasaanya mu mawanga.
12
Abantu bo wabatunda omuwendo mutono nnyo, tewasaba muwendo gwa waggulu mu bo.
13
Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa era ekisekererwa, eri abo abatwetoolodde.
14
Otufuula olufumo mu mawanga, ekisekererwa mu bantu.
15
Obudde okuziba okunyoomebwa kunjolekedde, Nzenna ensonyi zinsaanikidde,
16
Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, era avuma; N'okulaba kw'omulabe n'oyo awooleera eggwanga.
17
Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18
Omutima gwaffe teguzze mabega, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19
Naye ggwe watusuula awali emisege, N'otuleka mu kizikiza ekikutte.
20
Singa twerabidde erinnya lya Katonda waffe, oba okugolola emikono eri katonda omulala,
21
Ekyo Katonda talikizuula? Kubanga ebyama byonna eby'omu mutima abimanyi.
22
Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23
Zuukuka, kiki ekikwebasa, Ayi Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24
Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25
Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu; Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26
Golokoka otuyambe! Otununule olw'ekisa kyo!
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes