|
| 1 |
|
| Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirungi: Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu. |
|
| 2 |
|
| Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo. |
|
| 4 |
|
| Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu: N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa. |
|
| 5 |
|
| Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka. |
|
| 6 |
|
| Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo. |
|
| 7 |
|
| Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno. |
|
| 8 |
|
| Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza. |
|
| 9 |
|
| Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri. |
|
| 10 |
|
| Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo; |
|
| 11 |
|
| Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze. |
|
| 12 |
|
| N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo. |
|
| 13 |
|
| Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu. |
|
| 14 |
|
| Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli. |
|
| 15 |
|
| Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza: Banaayingira mu nnyumba ya kabaka. |
|
| 16 |
|
| Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna. |
|
| 17 |
|
| Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna: Amawanga kyeganaavanga kwebaza emirembe n'emirembe. |
|
|
|
|