×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 45

1
Nzijudde ebirungi eby'okunyumya nga njiiya oluyimba lwa kabaka. Bye njogera byesomba ng'ebigambo by'omuwandiisi omwangu mu kuwandiika.
2
Walungiwa okukira abalala, oyogeza kisa. Katonda yakuwa omukisa, era gwa nnaku zonna.
3
Weesibe mu kiwato kyo olukoba okuli ekitala, ggwe ow'amaanyi: kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.
4
Ayi Kabaka weebagale okulwanirira obwenkanya era n'amazima. Oli wa maanyi, wangula otiibwe.
5
Obusaale bwo bwa bwogi, bufumita emitima gy'abalabe bo. Amawanga gakuvuunamira.
6
Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya.
7
Wayagala obutuukirivu, n'okyawa ekibi. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno.
8
Ebyambalo byo biwunya kawoowo ka mirra, n'aka alowe, n'aka kasiya. Mu mbiri ezitimbiddwa amasanga osanyusibwa ennanga.
9
Mu bakyala abakuwembejja temubuzeemu bambejja. Nnamasole ayambadde ebya zaabu ebiteŋŋeenya. Akuyimiridde awo ku ludda lwo olwa ddyo.
10
Muwala, wulira olowooze bye ŋŋamba, ababo n'ab'ekika kyo beerabire.
11
Obulungi bwo kabaka alibwagala. Ye mukama wo, mufukaamirirenga.
12
Ab'e Tiiro balikuleetera ebirabo, n'abagagga balyettanira okusiimibwa gy'oli.
13
Mu lubiri omumbejja ekitiibwa kye kinene. Ekyambalo kye kya zaabu.
14
Bamutwalayo ewa kabaka mu byambalo ebiteŋŋeenya. Emperekeze ezigoberera nazo zigenda wa kabaka.
15
Bajjira mu ssanyu na kujaganya bayingire olubiri lwa kabaka.
16
Abaana bo balisikira bajjajjaabo n'obafuula bakabaka, bafugenga ensi zonna.
17
Onojjukirwanga bulijjo olw'oluyimba lwange luno. Bonna banaakutenderezanga ebiseera byonna ebijja.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes