|
| 1 |
|
| Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu. |
|
| 2 |
|
| Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi; n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi, yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo! |
|
| 4 |
|
| Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi, ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa. |
|
| 5 |
|
| Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka; afuge amawanga. |
|
| 6 |
|
| Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo. |
|
| 7 |
|
| Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna. |
|
| 8 |
|
| Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ez’amasanga. |
|
| 9 |
|
| Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri. |
|
| 10 |
|
| Muwala, wuliriza bye nkugamba: “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo. |
|
| 11 |
|
| Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira; nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.” |
|
| 12 |
|
| Muwala w’e Ttuulo alijja n’ekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo. |
|
| 13 |
|
| Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu. |
|
| 14 |
|
| Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gy’oli. |
|
| 15 |
|
| Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala, ne bayingira mu lubiri lwa kabaka. |
|
| 16 |
|
| Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo. |
|
| 17 |
|
| Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe. |
|
|
|
|