|
| 1 |
|
| Omutima gwange gujjudde musera ebigambo ebirungi; Bye njogera nga mpandiika oluyimba lwa kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu. |
|
| 2 |
|
| Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo; Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna. |
|
| 3 |
|
| Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo. |
|
| 4 |
|
| Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu; N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa. |
|
| 5 |
|
| Obusaale bwo bwa bwogi; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka; abantu bagwa wansi mu maaso go. |
|
| 6 |
|
| Entebe yo, ey'o bwa Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna; Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo gwa bwenkanya. |
|
| 7 |
|
| Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: N'olwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno. |
|
| 8 |
|
| Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa ka mooli ne akaloosi ne kasiya; Okuva mu mbiri ez'amasanga ebivuga eby'enkoba bikusanyusizza. |
|
| 9 |
|
| Abambejja bali mu bakyala bo ab'ekitiibwa; Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri. |
|
| 10 |
|
| Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo; |
|
| 11 |
|
| Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo; Kubanga ye Mukama wo; muvunnamire. |
|
| 12 |
|
| Abantu abe Ttuulo balinnoonya okusiimibwa nga bakuwa ebirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu, |
|
| 13 |
|
| baleeta eby'obugagga ebya buli ngeri. Omuwala wa kabaka ali munda mu lubiri, Ekyambalo kye kikoleddwa mu zaabu. |
|
| 14 |
|
| Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde ebyambalo eby'amabala; Ne bawala banne embeerera, Nabo banaaleetebwa gy'oli. |
|
| 15 |
|
| Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza, Banaayingira mu nnyumba ya kabaka. |
|
| 16 |
|
| Mu kifo kya bakitaawo, wanaabeera batabani bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna. |
|
| 17 |
|
| Ndireteera erinnya lyo okujjagulizibwanga emirembe gyonna; n'olwekyo abantu banaakutendereza emirembe n'emirembe. |
|
|
|
|