Luganda Bible
|
| 1 |
| Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku. |
| 2 |
| Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja; |
| 3 |
| Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera) |
| 4 |
| Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo. |
| 5 |
| Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga: Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu. |
| 6 |
| Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka. |
| 7 |
| Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera) |
| 8 |
| Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi. |
| 9 |
| Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro. |
| 10 |
| Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi. |
| 11 |
| Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera) |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/046.mp3
150
46