×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 46

1
Katonda kye kiddukiro kyaffe, ge maanyi gaffe. Bulijjo yeeteeseteese okutuyamba mu buzibu.
2
N'olwekyo tetuutyenga ensi ne bw'eneetabangukanga, ensozi ne bwe zinaasigukanga ne zeesuula mu buziba bw'ennyanja.
3
Amazzi g'ennyanja ne bwe gayira ne geevulungujja, ensozi ne zinyeenyezebwa olw'okwetabula kw'amazzi ago.
4
Waliwo omugga oguleeta essanyu mu kibuga kya Katonda, mu nnyumba ye, Atenkanika.
5
Katonda ali mu kibuga ekyo, tekirinyeenyezebwa. Anaakiyambanga ng'obudde tebunnalaba.
6
Katonda olwogeza amaanyi, amawanga gatiitiira, obwakabaka buyuuguuma, ensi n'esaanuuka.
7
Mukama Nnannyinimagye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.
8
Mujje mulabe Mukama by'akoze, mulabe ebyewuunyisa by'akoze ku nsi.
9
Amalawo entalo mu nsi zonna, emitego gy'obusaale n'agimenya. N'azikiriza amafumu, amagaali n'agakumako omuliro.
10
N'alagira nti: “Mukkakkane! Mumanye nti nze Katonda agulumizibwa mu mawanga gonna ne mu nsi zonna.”
11
Mukama Nnannyinimagye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes