BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eri omuyimbisa. Lwa batabani ba Kora. Lugenda nga Alamoti. Luyimba. |
| 2 |
| Katonda bwe buddukiro bwaffe n'amaanyi gaffe; bulijjo omuyambi atabulawo mu bizibu. |
| 3 |
| Kyetuva tutatya, ensi ne bw'eyuuguuma n'ensozi ne zigwa mu nnyanja wakati. |
| 4 |
| Amazzi gaayo ne bwe gayira ne gafuukuuka, n'ensozi ne ziyuuguuma olw'okwevujjuula kwago. |
| 5 |
| Waliyo omugga n'emyala gyagwo ebisanyusa ekibuga kya Katonda, ekifo ekitukuvu ekisulo ky'Ali Waggulu Ddala. |
| 6 |
| Katonda akiri mu makkati, tekirinyeenya; Katonda akiyamba mu matulutulu. |
| 7 |
| Amawanga gasambattuse, obwakabaka buyuuguuma, alya mu ttama, ensi n'emerenguka. |
| 8 |
| Omukama w'Amagye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe. |
| 9 |
| Mujje mulabe Omukama by'akola, eby'amaanyi by'akoze mu nsi. |
| 10 |
| Akomya entalo okutuuka ku nkingi z'ensi. Amenya emitego gy'obusaale, ennyago n'azibwatula; engabo n'azookya omuliro. |
| 11 |
| “Musirike, mumanye nga nze Katonda; ndigulumizibwa mu mawanga, ndigulumizibwa mu nsi.” |
| 12 |
| Omukama w'Amagye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/046.mp3
150
46