Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. |
| 2 |
| Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja; |
| 3 |
| amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago. |
| 4 |
| Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo. |
| 5 |
| Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya. |
| 6 |
| Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka. |
| 7 |
| Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe. |
| 8 |
| Mujje, mulabe Mukama by’akola, mulabe nga bw’afaafaaganya ensi. |
| 9 |
| Y’akomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali n’engabo abyokya omuliro. |
| 10 |
| Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi. |
| 11 |
| Katonda ow’Eggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/046.mp3
150
46