×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 46

1
Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2
Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;
3
Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo okw'amaanyi.
4
Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo.
5
Katonda ali wakati waakyo, tekiisagaasaganenga; Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
6
Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka.
7
Mukama ow'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.
8
Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.
9
Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro.
10
Musirike mumanye nga nze Katonda. Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi.
11
Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes