Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna; Mwogerere waggulu eri Katonda n'eddoboozi ery'okuwangula. |
| 2 |
| Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa: Ye kabaka omukulu: afuga ensi zonna. |
| 3 |
| Alijeemula abantu ne tubafuga, N'amawanga aligassa wansi w'ebigere byaffe. |
| 4 |
| Alitulondera obusika bwaffe, Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera) |
| 5 |
| Katonda alinaye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe. |
| 6 |
| Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza: |
| 7 |
| Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna: Muyimbe okumutendereza n'amagezi. |
| 8 |
| Katonda afuga amawanga: Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu. |
| 9 |
| Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu: Kubanga engabo ez'ensi za Katonda; Agulumizibwa nnyo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/047.mp3
150
47