Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abantu mwenna mukube mu ngalo, mutendereze Katonda mumuyimbire n'essanyu, |
| 2 |
| kubanga Mukama Atenkanika wa ntiisa. Ye Kabaka akira obukulu, ensi zonna ye azifuga. |
| 3 |
| Atuwa okuwangula abantu, amawanga gaabwe ne tugeefugira. |
| 4 |
| Yatulondera ensi mwe tubeera, etweyagaza ffe aba Yakobo gw'ayagala. |
| 5 |
| Katonda alinnye waggulu ng'abamutenda basaakaanya. Mukama atumbidde waggulu nga bamufuuyira eŋŋombe. |
| 6 |
| Muyimbire Katonda, mumutendereze. Kabaka waffe, muyimbe mumutendereze. |
| 7 |
| Katonda ye Kabaka mu nsi zonna, muyimbe nnyo mumutendereze. |
| 8 |
| Katonda afuga amawanga gonna, atudde ku ntebe ye entukuvu. |
| 9 |
| Abafuzi b'amawanga bakuŋŋaanye n'abantu ba Katonda wa Aburahamu. Ab'obuyinza mu nsi Katonda ye abafuga, bonna ye abasukkulumye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/047.mp3
150
47