×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 47

1
Mukube mu ngalo, mmwe abantu mwenna! Mwogerere waggulu eri Katonda, n'eddoboozi ery'essanyu!
2
Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa, Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna.
3
Yajeemulula abantu wansi waffe, N'amawanga wansi w'ebigere byaffe.
4
Yatulondera ensi ey'obusika bwaffe, Essanyu lya Yakobo gwayagala.
5
Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.
6
Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza.
7
Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna; Muyimbe okumutendereza ne zabbuli.
8
Katonda afuga amawanga; Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.
9
Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu. Kubanga engabo ez'omu nsi za Katonda; Era agulumizibwa nnyo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes