Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu. |
| 2 |
| Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu. |
| 3 |
| Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro. |
| 4 |
| Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Ne bayitamu wamu. |
| 5 |
| Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne baanguwa okugenda. |
| 6 |
| Ensisi n'ebakwatira omwo; N'okulumwa, ng'omukazi azaala. |
| 7 |
| Omuyaga oguva ebuvanjuba Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi. |
| 8 |
| Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera) |
| 9 |
| Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda, Wakati mu yeekaalu yo. |
| 10 |
| Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu. |
| 11 |
| Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo. |
| 12 |
| Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: Mubale ebigo byakyo. |
| 13 |
| Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja. |
| 14 |
| Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/048.mp3
150
48