×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 48

1
Mukama mukulu agwanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2
Siyooni lusozi lulungi mu kugulumira kwalwo. Ekibuga kya kabaka omukulu, kisanyusa ensi yonna.
3
Mu mayumba gaakyo Katonda yeeraze nga ye kye kiddukiro,
4
kubanga bakabaka baakuŋŋaana ne bajjira wamu okukirumba.
5
Bwe baakiraba ne beewuunya, ne batya ne babuna emiwabo.
6
Ensisi n'ebakwatirayo, ne balumwa ng'omukazi bw'alumwa ng'azaala.
7
Ne baba ng'amaato g'e Tarusiisi, agamenyebwa omuyaga gw'ebuvanjuba.
8
Bye twawuliranga, era bye byo bye tulabye, mu kibuga kya Katonda waffe, Mukama Nnannyinimagye ky'akuuma emirembe gyonna.
9
Twalowooza ku kisa kyo nga tuli wakati mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama.
10
Omanyiddwa mu nsi yonna, ayi Katonda, otenderezebwa buli wantu, ofugisa bwenkanya.
11
Ab'oku Lusozi Siyooni basanyuke abantu b'omu Buyudaaya bajaganye, kubanga osala bulungi ensonga.
12
Mutambule Siyooni mukyetooloole, mubale eminaala egirimu.
13
Mwekalirize ebigo byakyo, mwetegereze amayu gaakyo, musobole okunyumiza ab'omulembe ogujja
14
nti Katonda oyo ye Katonda waffe, ye anaatukulemberanga bulijjo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes