Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu. |
| 2 |
| Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu; |
| 3 |
| Katonda mw’abeera; yeeraze okuba ekigo kye. |
| 4 |
| Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana ne bakyolekera bakirumbe; |
| 5 |
| bwe baakituukako ne bakyewuunya, ne batya nnyo ne badduka; |
| 6 |
| nga bakankana, ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala. |
| 7 |
| Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi. |
| 8 |
| Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna. |
| 9 |
| Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo. |
| 10 |
| Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi. |
| 11 |
| Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga. |
| 12 |
| Mutambule mu Sayuuni, mukibune; mubale n’ebigo byakyo. |
| 13 |
| Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna; mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo. |
| 14 |
| Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/048.mp3
150
48