×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 48

1
Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe! ku lusozi lwe olutukuvu.
2
Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiikakkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.
3
Katonda yeeraze mu mayumba gaakyo nga ye kye kiddukiro.
4
Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Bajjira wamu bonna.
5
Bwe bakiraba, bonna ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne badduka.
6
Ensisi n'ebakwatirayo; N'okulumwa, ng'okw'omukazi azaala.
7
Olw'omuyaga oguva ebuvanjuba Omenyamenya amaato ag'e Talusiisi.
8
Nga bwe twawuliranga, era bwe twalaba bwe tutyo Mu kibuga kya Mukama ow'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna.
9
Twalowooza ku kisa kyo, Ayi Katonda, Wakati mu Yeekaalu yo.
10
Ng'erinnya lyo bwe liri, Ayi Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
11
Olusozi Sayuuni lusanyuke! Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo!
12
Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye, Mubale eminaala gyakyo.
13
Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
14
Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes