|
| 1 |
|
| Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi: |
|
| 2 |
|
| Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu. |
|
| 3 |
|
| Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya. |
|
| 4 |
|
| Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga. |
|
| 5 |
|
| Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange? |
|
| 6 |
|
| Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi; |
|
| 7 |
|
| Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe: |
|
| 8 |
|
| (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:) |
|
| 9 |
|
| Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda, |
|
| 10 |
|
| Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala: |
|
| 11 |
|
| lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo. |
|
| 12 |
|
| Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira. |
|
| 13 |
|
| Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera) |
|
| 14 |
|
| Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu. |
|
| 15 |
|
| Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera) |
|
| 16 |
|
| Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera: |
|
| 17 |
|
| Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera: |
|
| 18 |
|
| Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi, |
|
| 19 |
|
| Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate. |
|
| 20 |
|
| Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira. |
|
|
|
|