Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Muwulire kino ab'amawanga gonna, muwulirize mwenna abatuuze b'oku nsi: |
| 2 |
| abeekitiibwa n'abakopi, abagagga wamu n'abaavu. |
| 3 |
| Ebigambo bye njogera bya magezi, bye ndowooza bitegeerekeka. |
| 4 |
| Nja kwetegereza olugero, ndunnyonnyolere ku nnanga. |
| 5 |
| Siityenga mu biseera ebizibu, ng'abalabe bange banneetoolodde. |
| 6 |
| Ababi abeesiga obugagga bwe balina, abeewaana olw'endulundu y'ebintu, |
| 7 |
| mu bo teri ayinza kwenunula, n'awa Katonda ensimbi zigule obulamu. |
| 8 |
| Obulamu bwe bwa muwendo nnyo, buli ky'alina okuwaayo tekimala, |
| 9 |
| okumukuuma kimuwangaaze, aleme kuyingira magombe. |
| 10 |
| Buli muntu akiraba nti n'abagezi bafa, abatamanyi wamu n'abasiru nabo bazikirira, n'obugagga bwabwe ne babulekera abalala. |
| 11 |
| Entaana zaabwe ge maka gaabwe bulijjo mwe balisigala ennaku zonna, wadde baalina ettaka lye baayitanga eryabwe. |
| 12 |
| Omuntu tabeerera mu kitiibwa, ali ng'ensolo ezizikirira. |
| 13 |
| Laba ebituuka ku beesiga eby'obusiru, ne ku abo abasanyukira mu bugagga. |
| 14 |
| Bali ng'endiga ezirundirwa emagombe. Walumbe ye musumba waabwe. Entaana zaabwe balizeesogga, era tebalirwawo kuvunda. Emagombe ye eriba amaka gaabwe. |
| 15 |
| Naye Katonda alimponya emagombe, kubanga alinzikiriza mbe wuwe. |
| 16 |
| Omuntu bw'agaggawala ekitiibwa kye ne kyeyongera, tomutyanga. |
| 17 |
| Bw'alifa talibaako ky'atwala. Ekitiibwa kye tekirikka mu ntaana. |
| 18 |
| Omuntu ne bwe yeewaana nti mu bulamu wa mukisa, ne bwe bamutendereza nga ne by'akola biramye, |
| 19 |
| alikkayo emagombe naye, eri bajjajjaabe, enzikiza gy'ekutte. |
| 20 |
| Omuntu alina ekitiibwa n'atakitegeera, ali ng'ensolo ezizikirira. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/049.mp3
150
49