|
| 1 |
|
| Muwulire mmwe amawanga gonna, mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi. |
|
| 2 |
|
| Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna; muwulirize ebigambo byange. |
|
| 3 |
|
| Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi, ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera. |
|
| 4 |
|
| Nnaakozesanga ebikwata ku ngero, nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga. |
|
| 5 |
|
| Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu; newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde, |
|
| 6 |
|
| abantu abeesiga obugagga bwabwe beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina. |
|
| 7 |
|
| Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne, wadde okwegula okuva eri Katonda. |
|
| 8 |
|
| Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo, tewali n’omu agusobola; |
|
| 9 |
|
| alyoke awangaale ennaku zonna nga tatuuse magombe. |
|
| 10 |
|
| Kubanga n’abantu abagezi bafa; abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo, obugagga bwabwe ne babulekera abalala. |
|
| 11 |
|
| Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna; nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo; baafuna ettaka mu mannya gaabwe. |
|
| 12 |
|
| Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya, alifa ng’ensolo bwe zifa. |
|
| 13 |
|
| Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu, era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe. |
|
| 14 |
|
| Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa; olumbe ne lubalya. Bakka butereevu emagombe, obulungi bwabwe ne bubula, amagombe ne gafuuka amaka gaabwe. |
|
| 15 |
|
| Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gy’ali. |
|
| 16 |
|
| Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde, tomutyanga, |
|
| 17 |
|
| kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye. |
|
| 18 |
|
| Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa kubanga omugagga abantu bamugulumiza, |
|
| 19 |
|
| kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe, n’ayingira mu kizikiza ekikutte. |
|
| 20 |
|
| Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna, alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko. |
|
|
|
|