|
| 1 |
|
| Mukiwulire kino, mmwe abantu bonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. |
|
| 2 |
|
| Abakopi era n'abeebitiibwa, Abagagga awamu n'abaavu! |
|
| 3 |
|
| Akamwa kange kanaayogera amagezi; Okulowooza kw'omutima gwange kunaaba okumanya. |
|
| 4 |
|
| Nnaakyusa okutu kwange okuwuliriza olugero: Nnaabikkula ekigambo ekitategeerekeka n'ennanga. |
|
| 5 |
|
| Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwa balabe bange nga buneetooloodde, |
|
| 6 |
|
| Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi? |
|
| 7 |
|
| Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo ogw'obulamu bwe, |
|
| 8 |
|
| Kubanga okununula emmeeme ye kwa muwendo, tewali kusasula kuyinza kumala, |
|
| 9 |
|
| Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Aleme okulaba obunnya, |
|
| 10 |
|
| Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala. |
|
| 11 |
|
| Entaana zaabwe ge maka gaabwe, mwe balisigala ennaku zonna; Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo. |
|
| 12 |
|
| Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa, Ali ng'ensolo ezizikirira. |
|
| 13 |
|
| Eno yenkomerero y'abo abalina obwesige obw'obusirusiru, Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe. |
|
| 14 |
|
| Bateegekeddwa okuttibwa ng'endiga; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe; Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; Emibiri gyabwe tegirirwawo okuvunda, Emagombe ye eriba amaka gaabwe. |
|
| 15 |
|
| Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alintwala ewuwe. |
|
| 16 |
|
| Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera. |
|
| 17 |
|
| Kubanga bw'alifa talitwala kintu; Ekitiibwa kye tekirikka naye mu ntaana. |
|
| 18 |
|
| Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi, |
|
| 19 |
|
| Naye alikka mu magombe eri bajjajja be; Tebaliraba musana nate. |
|
| 20 |
|
| Omuntu alina ekitiibwa n'atakitegeera, Ali ng'ensolo ezizikirira. |
|
|
|
|