×

Luganda Bible

Zabbuli 5

1
Wulira ebigambo byange, ai Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
2
Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe.
3
Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.
4
Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli.
5
Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go: Okyawa bonna abakola, ebitali bituukirivu.
6
Olizikiriza aboogera eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba.
7
Naye ku lwange mu bungi bw'ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo: Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu.
8
Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.
9
Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe.
10
Obasseeko omusango, ai Katonda; Bagwe olw'okuteesa kwabwe bo: Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi; Kubanga bakujeemedde ggwe.
11
Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12
Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng'engabo.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes