Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Wulira bye ŋŋamba, ayi Mukama, tegereza omulanga gwange. |
| 2 |
| Wulira okwegayirira kwange, ggwe Kabaka wange era Katonda wange. |
| 3 |
| Ku makya owulira eddoboozi lyange. Enjuba ng'evaayo nkusaba, ne nnindirira ky'ononziramu. |
| 4 |
| Ggwe Katonda atasanyukira bikolwa bibi, akola ekibi tabeera naawe. |
| 5 |
| Abeenyumiriza tobakkiriza mu maaso go, okyawa bonna abakola ebibi. |
| 6 |
| Ozikiriza aboogera eby'obulimba; abatta abantu era n'ab'enkwe, Mukama obakyayira ddala. |
| 7 |
| Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo. Nnaasinzizanga mu Ssinzizo lyo ettukuvu, ne nkussaamu ekitiibwa. |
| 8 |
| Ayi Mukama, nnuŋŋamya nkolenga ky'oyagala, kubanga nnina abampalana bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo lye mba nkwata. |
| 9 |
| Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, ekibali ku mutima kwe kukola ebibi. Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, boogera bya kuwaanawaana. |
| 10 |
| Ayi Katonda, basalire omusango okubasinga. Bo bennyini be baba bagwa mu mitego gyabwe. Bagobe mu maaso go olw'ebibi byabwe ebingi, kubanga bakujeemedde ggwe. |
| 11 |
| Naye bonna abakwesiga basanyuke, bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abakwagala basanyukirenga mu ggwe, |
| 12 |
| kubanga, ayi Mukama, owa omukisa abakola by'oyagala. Ekisa kyo kibakuuma ng'engabo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/005.mp3
150
5