Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange. |
| 2 |
| Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba. |
| 3 |
| Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu. |
| 4 |
| Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: n’ebitasaana tobigumiikiriza. |
| 5 |
| Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna. |
| 6 |
| Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba. |
| 7 |
| Naye olw’ekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu n’okutya okungi. |
| 8 |
| Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu. |
| 9 |
| Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba. |
| 10 |
| Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda; baleke bagwe mu mitego gyabwe. Bagobe kubanga baakujeemera. |
| 11 |
| Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe. |
| 12 |
| Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/005.mp3
150
5