×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 5

1
Wulira ebigambo byange, ayi Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
2
Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange. Kubanga ggwe gw'ensaba.
3
Ayi Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange. Buli nkya nnaakusabanga, ne nnindirira ky'onoonziramu.
4
Kubanga toli Katonda asanyukira obubi, Tokkiriza bitasaana mu maaso go.
5
Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go, Okyawa bonna abakola ebibi.
6
Ozikiriza aboogera eby'obulimba; Mukama akyawa abantu abatta n'abalimba.
7
Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, nnaayingiranga mu nnyumba yo. Naasinzanga nga njolekera Yeekaalu yo entukuvu.
8
Ayi Mukama onkulembere nkole by'oyagala, kubanga abalabe bange bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo.
9
Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, Balowooza kukola bubi, Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, Boogera bya bukuusa.
10
Basseeko omusango, Ayi Katonda. Leka bagwe mu mitego gyabwe bo, Babonereze olw'okwonoona kwabwe okungi, Kubanga bakujeemedde ggwe.
11
Naye bonna abakwesiga ggwe basanyuke, Bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12
Kubanga Ayi Mukama owa omukisa abatuukirivu. Ekisa kyo kibeetooloola ng'engabo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes