×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 50

1
Katonda Omuyinzawaabyonna, Mukama ayogera, ensi yonna n'agiyita okuva enjuba gy'eva okutuusiza ddala gy'egwa.
2
Katonda ayakira mu Siyooni obulungi mwe bujjudde.
3
Katonda waffe ajja, era tajja kusirika omuliro gwe gwaka, yetooloddwa kibuyaga omungi.
4
Ayita eggulu n'ensi ng'asalira abantu be omusango:
5
“Mukuŋŋaanyize wendi abeesigwa bange bwe twakola endagaano nga bampa ebitambiro.”
6
Eggulu lirangirira nti Katonda mutuukirivu, yennyini ye mulamuzi.
7
“Abantu bange muwulire, ka njogere, ka nkulumirize ggwe Yisirayeli, nze Katonda, Katonda wo.
8
Sikunenya lwa bitambiro byo. Ebyokebwa tebibulawo by'ompa.
9
Naye ente ennume ez'omu biraalo byo n'embuzi ennume ez'omu malundiro go sizeetaaga,
10
kubanga ensolo zonna mu bibira zange, wamu n'amagana agali ku nkumi n'enkumi z'obusozi.
11
Ebinyonyi we bifa byenkana byange na buli kiramu mu ttale kyange.
12
“Singa enjala ennuma sigamba ggwe, kubanga ensi yonna n'ebigirimu byange.
13
Ennyama y'ente ennume gye ndya? Wadde omusaayi gw'embuzi ennume gwe nnywa?
14
Weerezanga Katonda ekitambiro eky'okumwebaza okolenga nga bw'osuubizza Atenkanika.
15
Onkoowoolenga ng'oli mu buzibu, nnaakuyambanga, ggwe n'ontendereza.”
16
Naye Katonda agamba omubi nti: “Lwaki ojeeja ebiragiro byange, n'oyogera ku ndagaano yange?
17
Toyagala kugololebwa, ne bye nkugamba obisuula muguluka.
18
Omubbi gw'olaba gw'okwana, oli wa kinywi n'abenzi.
19
“Okwogera obubi lye ssanyu lyo, era tolonzalonza kulimba.
20
W'obeera baganda bo obavuma, era n'obawaayiriza.
21
Byonna ebyo wabikola ne nsirika, n'olowooza nti ndi nga ggwe. Naye kaakano nkunenya, ne nkulaga bw'okyamye.
22
“Mmwe abanneerabira mwerinde nneme kubasaanyaawo, ng'ow'okubawonya tewali.
23
Aleeta ekitambiro eky'okwebaza anzisaamu ekitiibwa, n'omulungi mu mpisa ze sirirema kumulokola.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes