|
| 1 |
|
| Omuyinza wa byonna, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasa. |
|
| 2 |
|
| Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza. |
|
| 3 |
|
| Katonda waffe alijja, so talisirika; Mu maaso ge waliwo omuliro ogwaka, Okumwetooloola waliwo omuyaga mungi. |
|
| 4 |
|
| Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango; |
|
| 5 |
|
| Mukuŋŋaanyize wendi abatukuvu bange; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka. |
|
| 6 |
|
| N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini! |
|
| 7 |
|
| Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange nnaakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo. |
|
| 8 |
|
| Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo. |
|
| 9 |
|
| Siriggya sseddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo. |
|
| 10 |
|
| Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ku nsozi lukumi (1,000). |
|
| 11 |
|
| Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi; N'ensolo ez'omu nsiko zange. |
|
| 12 |
|
| Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde; Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo. |
|
| 13 |
|
| Nze naalyanga ennyama eya sseddume, Oba nnaanywanga omusaayi gw'embuzi? |
|
| 14 |
|
| Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo eri oyo ali waggulu ennyo; |
|
| 15 |
|
| Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze. |
|
| 16 |
|
| Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, Oba okutwala endagaano yange ku mimwa gyo? |
|
| 17 |
|
| Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula emabega bo. |
|
| 18 |
|
| Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi. |
|
| 19 |
|
| Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lwogera eby'obulimba. |
|
| 20 |
|
| Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko. |
|
| 21 |
|
| Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nnenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go. |
|
| 22 |
|
| Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya! |
|
| 23 |
|
| Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda. |
|
|
|
|