×

Luganda Bible

Zabbuli 51

1
Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
2
Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange.
3
Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso go bulijjo.
4
Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.
5
Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
6
Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
7
Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi: Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
8
Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9
Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna.
10
Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.
11
Tongoba w'oli; So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
12
Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo: Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
13
Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
14
Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange;
15
Ai Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo
16
Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
17
Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
18
Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala: Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19
N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba: Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes