×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 51

1
Onsaasire, Ayi Katonda, mu kisa kyo; Olw'okusaasira kwo okungi sangula ebyonoono byange byonna.
2
Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange.
3
Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.
4
Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.
5
Laba, nze nnatondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
6
Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika on'ommanyisa amagezi.
7
Ontukuze n'ezobu, nange nnaaba mulongoofu; Onnaaze, nange nnaaba mutukuvu okusinga omuzira.
8
Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9
Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna.
10
Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.
11
Tongoba w'oli; So tonziggyaako omwoyo gwo omutukuvu.
12
Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo, Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
13
Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
14
Omponye mu musango gw'omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange; Olulimi lwange luliyimba nnyo obulokozi bwo.
15
Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo.
16
Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naandizikuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikusanyusa.
17
Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese; Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
18
Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala; Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19
N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba; Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes