Luganda Bible
|
| 1 |
| Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira? Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera. |
| 2 |
| Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba. |
| 3 |
| Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera) |
| 4 |
| Oyagala ebigambo byonna ebiruma, Ggwe olulimi olw'obulimba. |
| 5 |
| Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera) |
| 6 |
| Era n'abatuukirivu baliraba, balitya, Balimusekerera, nga boogera nti |
| 7 |
| Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe. |
| 8 |
| Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda: Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe. |
| 9 |
| Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo: Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/052.mp3
150
52