×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 52

1
Ggwe ow'amaanyi, lwaki weenyumiriza olw'ettima lyo? Ekisa kya Katonda kya lubeerera.
2
Oteekateeka okuzikiriza abalala, ebigambo byo biri ng'ekiso ekyogi, bulijjo oyiiya eby'obulimba.
3
Oyagala ebibi okusinga ebirungi, oyagala obulimba okusinga amazima.
4
Oyagala ebigambo ebirumya abalala, mulimba ggwe!
5
Katonda kyaliva akuzikiriza emirembe gyonna. Alikukwata n'akusika mu nnyumba yo n'akuggya mu nsi y'abalamu.
6
Abantu abalungi baliraba kino ne batya. Balikusekerera ne bagamba nti:
7
“Laba, ono ye ateesiganga Katonda kumukuuma, wabula eyeesiganga obugagga bwe obungi, n'asuubira nti okukola ebibi kulimukuuma.”
8
Naye nze ndi ng'omuti omuzayiti ogukulira mu nnyumba ya Katonda: neesiga kisa kya Katonda emirembe gyonna.
9
Nnaakwebazanga bulijjo ayi Katonda, olw'ebyo by'okoze mu maaso g'abatukuvu bo. Nnaayatulanga bulijjo bw'oli omulungi.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes