×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 52

1
Lwaki weenyumiririza, ggwe omuzira olw'ebibi ebikolebwa ku batuukirivu? Olunaku lwonna,
2
oteekateeka okuzikiriza abalala; Olulimi lwo lulinga akamwano ak'obwogi, ggwe omukozi ow'enkwe.
3
Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima.
4
Oyagala ebigambo ebirumya abalala, Ggwe olulimi olw'obulimba.
5
Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu.
6
Era n'abatuukirivu balikiraba, ne batya, Balimusekerera, ne boogera nti,
7
“Laba, ye wuuyo omusajja ataafuula Katonda mukuumi we; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Nnanoonya obukuumi mu bugagga bwe!”
8
Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Nneesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.
9
Nnaakwebazanga ennaku zonna, olw'ebyo by'okoze. Era nnaalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes